Revelation 17:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika n'aŋŋamba nti: “Weewuunyiza ki? Kale nzija kukubuulira amakulu amakusike ag'omukazi n'ekisolo ekimusitudde ekirina emitwe omusanvu n'amayembe ekkumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika n’ambuuza nti, “Lwaki weewuunya? Nzija kukunnyonnyola ebyama eby’omukazi oyo era n’ekisolo kw’atudde ekirina emitwe omusanvu n’amayembe ekkumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika n'aŋŋamba nti, “ Kiki ekikwewuunyisa? Nze nnaakubuulira ekyama ky'omukazi, n'eky'ensolo emusitudde, erina emitwe omusanvu n'amayembe ekkumi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika n'aŋŋamba nti: “Lwaki weewuunya? Ka nkubuulire ekyama ekifa ku mukazi oyo, ne ku kisolo ekimusitudde, ekirina emitwe omusanvu n'amayembe ekkumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika n'aŋŋamba nti Kiki ekikwewuunyisa? Nze nnaakubuulira ekyama ky'omukazi, n'eky'ensolo emusitudde, erina emitwe omusanvu n'amayembe ekkumi.