Revelation 17:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ekisolo ky'olabye, kyaliwo, kati tekikyaliwo; kijja kuva mu nnyanga, kigende kizikirizibwe; abali ku nsi abalina amannya agataawandiikibwa mu kitabo kya bulamu okuva ensi lwe yabangibwawo, bagenda kwewuunya bwe baliraba ekisolo, kubanga kyaliwo, tekikyaliwo, ate kigenda kujja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekisolo kye walabye kyaliwo, naye kaakano tekikyaliwo era mu bbanga ttono kiriggyibwa mu bunnya obutakoma kiryoke kizikirizibwe. Abantu abali ku nsi amannya gaabwe nga tegawandiikiddwa mu kitabo eky’Obulamu okuva ensi lwe yatondebwa, balyewuunya okulaba ekisolo ekyaliwo, ne kitabeerawo, ate ne kiddamu okubeerawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensolo gye walabye yaliwo era nga tekyaliwo era egenda okuva mu bunnya obutakoma n'okugenda mu kubula. N'abo abantu abali ku nsi amannya gaabwe nga tegawandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu okuva ensi lwe yatondebwa balyewuunya, bwe baliraba ensolo nga yaliwo, ate ne tebeerawo, ate ne komawo nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekisolo ky'olabye kyaliwo, kati tekikyaliwo. Naye kinaatera okuva mu bunnya obutakoma, kigende kizikirizibwe. Abantu abali ku nsi, amannya gaabwe nga tegaawandiikibwa mu kitabo kya bulamu okuva ensi lwe yatondebwawo, balyewuunya, bwe baliraba ng'ekisolo ekyaliwo, kati tekikyaliwo, ate nga kiriddamu okulabika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensolo gye walabye yaliwo era nga tekyaliwo era egenda okuva mu bunnya obutakoma n'okugenda mu kubula. N'abo abatuula ku nsi balyewuunya, abataawandiikibwa linnya lyabwe mu kitabo ky'obulamu kasookedde ensi eteekebwawo, bwe baliraba ensolo nga yaliwo era nga tekyaliwo ate eribaawo.