Revelation 18:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma, ne ndaba malayika omulala ng'akkirira ng'ava mu ggulu, ng'alina obuyinza bungi; ensi yonna n'etangaala olw'ekitiibwa kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu n’obuyinza obungi ennyo era ensi n’eyakaayakana olw’ekitiibwa kye yalina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba malayika omulala ng'akka okuva mu ggulu, ng'alina obuyinza bungi; n'ensi n'eyakaayakaana olw'ekitiibwa kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, ne ndaba malayika omulala ng'akka ng'ava mu ggulu, ng'alina obuyinza bungi. Ekitiibwa kye ne kimulisa ensi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma lw'ebyo ne ndaba malayika omulala ng'akka okuva mu ggulu, ng'alina obuyinza bungi; n'ensi n'emulisibwa ekitiibwa kye.