Revelation 18:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bayimiridde walako olw'entiisa y'ebibonoobono bye, ne bagamba nti: “Nga kitalo, nga kitalo, ggwe ekibuga eky'ekitalo! Ayi Babiloni, ekibuga eky'amaanyi! Mu ssaawa busaawa ekibonerezo kyo kikujjidde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baliyimirira wala nga bakankana olw’okutya era nga boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “ ‘Zikisanze, Zikisanze Babulooni ekibuga ekyo ekikulu! Ekibuga eky’amaanyi, Kubanga mu ssaawa emu omusango gwakyo gusaliddwa.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
baliyimirira wala olw'entiisa ey'okubonaabona kwe, nga boogera nti, “Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene Babbulooni, ekibuga eky'amaanyi, kubanga mu ssaawa emu omusango gwo gutuuse.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baliyimirira wala olw'okutya okubonaabona kwakyo, ne bagamba nti: “Zikusanze, zikusanze ggwe Babilooni ekibuga ekinene! Ggwe ekibuga eky'amaanyi, ozikiriziddwa mu ssaawa emu yokka!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bayimiridde wala olw'entiisa ey'okubonaabona kwe, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene Babulooni, ekibuga eky'amaanyi, kubanga mu ssaawa emu omusango gwo gutuuse.