Revelation 18:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
emigugu egya zaabu, ffeeza, amayinja ag'omuwendo, amalulu, engoye empeweevu n'eza kakobe, ne liiri, n'emmyufu, emiti gyonna egy'akawoowo, n'ebintu byonna eby'amasanga, n'ebintu byonna ebikole mu miti egy'emiwendo, n'ekikomo, n'ekyuma, n'eby'ejjinja, ne maabo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyamaguzi ebya zaabu, n’ebya ffeeza, n’eby’amayinja ag’omuwendo, ne luulu, n’eby’engoye eza linena, n’eza kakobe, n’eza liiri, n’emyufu era na buli muti gwonna ogwa kaloosa, n’ebintu eby’amasanga, na buli kika eky’emiti egy’omuwendo ennyo, n’ebikomo, n’ebyuma awamu n’amayinja aga mabbo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebya maguzi ebya zaabu, ne ffeeza, n'amayinja ag'omuwendo, ne luulu, ne bafuta ennungi, n'olugoye olw'effulungu, n'olw'aliiri, n'olugoye olumyufu; na buli muti ogw'omugavu, na buli kintu eky'essanga, na buli kintu eky'omuti ogw'omuwendo omungi ennyo, n'eky'ekikomo, n'eky'ekyuma, n'eky'ejjinja eddungi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewakyali agula zaabu, ne ffeeza, n'amayinja ag'omuwendo, n'ago agayitibwa luulu; engoye eŋŋonvu eza kakobe, n'eza liiri, n'emmyufu; na buli muti ogw'akawoowo, na buli kintu eky'essanga, na buli kintu eky'omuti ogw'omuwendo ennyo; n'eky'ekikomo, n'eky'ekyuma, n'eky'amayinja amalungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obuguzi obwa zaabu, ne ffeeza, n'amayinja ag'omuwendo, ne luulu, ne bafuta ennungi, n'olugoye olw'effulungu, ne aliiri, n'olugoye olumyufu; na buli muti ogw'omugavu, na buli kintu eky'essanga, na buli kintu eky'omuti ogw'omuwendo omungi ennyo, n'eky'ekikomo, n'eky'ekyuma, n'eky'ejjinja eddungi;