Revelation 18:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
budalasiini, ebirungo, obubaani, mirra, envumbo, n'omuzigo ogw'akawoowo, obuwunga obuse, eŋŋano, ente, endiga, embalaasi, ebigaali, n'abaddu, kwe kugamba, abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ebyakaloosa, n’ebinzaali, n’obubaane, n’omuzigo gw’omugavu, n’envinnyo, n’amafuta, n’obuwunga bw’eŋŋaano obulungi; n’ente, n’endiga; n’embalaasi, n’amagaali; n’abaddu n’emyoyo gyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'eky'akaloosa, n'ebinzaali, n'obubaane, n'omuzigo gw'omugavu, n'envumbo, n'omwenge, n'amafuta, n'obutta obulungi, n'eŋŋaano, n'ente n'endiga; n'obuguzi bw'embalaasi n'amagaali n'abaddu; n'emyoyo gy'abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era tewakyali agula bya kaloosa, n'ebirungo by'enva, n'obubaane, n'omuzigo ogw'akawoowo oguyitibwa mirra, n'envumbo; omwenge gw'emizabbibu, n'amafuta; obuwunga obukuŋŋuntiddwa obulungi, n'eŋŋaano; ente n'endiga, n'embalaasi n'ebigaali; abaddu n'abantu abanyagibwa mu lutalo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)