Revelation 18:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ebibala omwoyo gwo bye gwegombanga bikuleseewo; n'eby'omuwendo byonna n'ebitiibwa byo bikufudde, tebikyaddayo kulabikako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ekibala emmeeme yo kye yeegombanga, tekyakirina, byonna eby’omuwendo omungi n’eby’okwejalabya tebikyali bibyo. Bikuvuddeko byonna so toliddayo kubirabako nate emirembe gyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“N'ebibala omwoyo gwo bye gwegomba bikuvuddeko, n'ebintu byonna ebiwooma n'ebirungi bikuvuddeko, so tebikyalabika nate.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasuubuzi balikigamba nti: “Ebirungi byonna bye weegombanga okufuna bikufudde, ebyobugagga byonna n'ebyekitiibwa bikuweddeko, era tokyaddayo kubirabako n'akatono.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebibala omwoyo gwo bye gwegomba bikuvuddeko, n'ebintu byonna ebiwooma n'ebirungi bikuvuddeko, so tebakyabiraba nate.