Revelation 18:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga bagamba nti: “Nga kitalo, nga kitalo, ekibuga eky'ekitalo, ekyayambalanga engoye empeweevu, eza kakobe n'emmyufu, nga kyewoomezza ne zaabu n'amayinja g'omuwendo n'amalulu!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga bagamba nti, “ ‘Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu, ekifaanana ng’omukazi ayambadde engoye eza linena omulungi, n’eza kakobe, n’emyufu, era ng’ataddemu eby’omu bulago ebya zaabu n’amayinja ag’omuwendo omungi ne luulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, ekyayambazibwa bafuta ennungi n'olugoye olw'effulungu n'olumyufu, era n'ekiyonjebwa ne zaabu n'amayinja ag'omuwendo ne luulu!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bagamba nti: “Zikisanze, zikisanze ekibuga ekyo ekinene, ekyayambalanga engoye eŋŋonvu, eza kakobe n'emmyufu; ne kitimbibwa zaabu n'amayinja ag'omuwendo, n'ago agayitibwa luulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga boogera nti Zikisanze; zikisanze, ekibuga ekinene, ekyayambazibwa bafuta ennungi n'olugoye olw'effulungu n'olumyufu, era ne kiyonjebwa ne zaabu n'amayinja ag'omuwendo ne luulu!