Revelation 18:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ssaawa busaawa obugagga buno bwonna busaanyiziddwawo!” Abakulu b'amaato, abalunnyanja, abagoba b'amato, na bonna abakolera ku nnyanja, bayimiridde walako
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu ssaawa emu obugagga obwenkanaawo bwonna buzikiridde!’ “Era abo bonna abalina emmeeri ez’eby’obusuubuzi awamu n’abagoba baazo, n’abo abazikolamu, baayimirira wala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga mu ssaawa emu obugagga obungi nga buno buzikiridde.” Na buli mugoba na buli atambula wonna wonna mu lyato n'abalunnyanja ne bonna abakola emirimu egy'omu nnyanja, ne bayimirira wala,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kifiiriddwa obugagga obwo bwonna mu ssaawa emu yokka!” Abagoba b'amaato bonna, n'abasaabaze bonna, n'abalunnyanja, na bonna abasuubulira ku nnyanja, baayimirira wala
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga mu ssaawa emu obugagga obungi nga buno buzikiridde. Na buli mugoba na buli atambula wonna wonna mu lyato n'abalunnyanja ne bonna abakola emirimu egy'omu nnyanja, ne bayimirira wala,