Revelation 18:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne beeyiira enfuufu ku mutwe nga bwe bakaaba n'okukungubaga, nga bagamba nti: “Nga kitalo, nga kitalo eky'ekibuga eky'ekitalo! Bonna abaalina amaato ku nnyanja mwe baagaggawalira ku bugagga bwakyo; mu ssaawa busaawa kifuuse matongo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne beeyiyira enfuufu ku mitwe gyabwe nga banakuwadde era nga bakaaba nga boogera nti, “ ‘Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu! Kyabagaggawaza bonna abaalina ebyombo ku lubalama lw’ennyanja olw’obugagga obwakirimu, naye kaakano mu ssaawa emu byonna ebyakirimu bizikiridde.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bafuka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne boogerera waggulu nga bakaaba nga banakuwala, nga boogera nti, “Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, bonna kye bagaggawaliramu abaalina ebyombo mu nnyanja olw'omuwendo gwe omungi, kubanga mu ssaawa emu gwazikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne beeyiira enfuufu mu mitwe, ne baleekaana nga bakaaba era nga bakungubaga, nga bagamba nti: “Zikisanze, zikisanze ekibuga ekinene era ekigagga ennyo, ekyagaggawalirwamu abalina amaato ku nnyanja. Kizikiriziddwa mu ssaawa emu yokka!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bafuka enfuufu ku mitwe gyabwe, ne boogerera waggulu nga bakaaba nga banakuwala, nga boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, bonna kye bagaggawaliramu abaalina ebyombo mu nnyanja olw'omuwendo gwe omungi, kubanga mu ssaawa emu gwazikirira.