Revelation 18:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aleekaana n'eddoboozi ery'amaanyi nti: “Agudde, agudde Babiloni ow'ekitalo! afuuse kisulo kya myoyo migwagwa, ekkomera lya buli mwoyo mubi, ekkomera lya buli kinyonyi ekitali kirongoofu ekyakyayibwa;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Babulooni ekibuga ekikulu kigudde! kigudde! Kifuuse empuku ya baddayimooni, n’ekkomera lya buli mwoyo ogutali mulongoofu, n’ekkomera erya buli nnyonyi etali nnongoofu, n’ekkomera erya buli kisolo ekitali kirongoofu, ebyakyayibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogerera waggulu n'eddoboozi ery'amaanyi, ng'ayogera nti, “Kigudde, kigudde Babbulooni ekinene, ne kifuuka ekisulo kya balubaale, n'ekkomera erya buli dayimooni, n'ekkomera erya buli nnyonyi embi ekyayibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Kigudde, Babilooni ekibuga ekinene kigudde! Kifuuse kisulo ky'emyoyo emibi; omukuŋŋaanira emyoyo emyonoonefu gyonna, lye kkuŋŋaaniro ly'ebinyonyi byonna ebibi era ebikyayibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogerera waggulu n'eddoboozi ery'amaanyi, ng'ayogera nti Kigudde, kigudde Babulooni ekinene, ne kifuuka ekisulo kya balubaale, n'ekkomera erya buli dayimooni, n'ekkomera erya buli nnyonyi embi ekyayibwa.