Revelation 18:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika omu ow'amaanyi, n'abaka ejjinja eriri ng'olubengo olunene, n'alikasuka mu nnyanja, nga bw'alaamiriza nti: “Babiloni, ekibuga eky'ekitalo bwe kirikanyugibwa n'amaanyi wansi, tekiriddayo kusangibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo malayika omu ow’amaanyi n’asitula ejjinja eddene eriri ng’olubengo n’alisuula mu nnyanja nga bw’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Bwe kityo Babulooni, ekibuga ekikulu bwe kirisuulibwa wansi n’amaanyi, era tekiriddayo kulabika nate emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Malayika ow'amaanyi n'asitula ejjinja eddene ng'olubengo olunene, n'alisuula mu nnyanja, ng'ayogera nti, “Babbulooni, ekibuga ekinene, bwe kirisuulibwa bwe kityo n'okutandaggirwa okunene, so tekirirabika nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo malayika ow'amaanyi n'asitula ejjinja eriri ng'olubengo olunene, n'alisuula mu nnyanja, ng'agamba nti: “Babilooni ekibuga ekinene bwe kirisuulibwa bwe kityo wansi n'amaanyi mangi, ne kitaddayo kulabibwa!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Malayika ow'amaanyi n'asitula ejjinja ddene ng'olubengo olunene, n'alisuula mu nnyanja, ng'ayogera nti Babulooni, ekibuga ekinene, bwe kirisuulibwa bwe kityo n'okutandaggirwa okunene, so tekirirabika nate.