Revelation 18:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ekitangaala ky'ettawaaza tekiriddayo kwakira mu ggwe; n'eddoboozi ly'awasizza n'omugole teririddayo kuwulikika mu ggwe. Kubanga abaasuubulanga naawe be baali abakungu mu nsi; amawanga gonna gaagulikibwa obulogo bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitangaala ky’ettabaaza ng’eyaka tekirirabikira mu ggwe nate, kubanga abasuubuzi be wasuubulanga nabo baamanyika nnyo mu nsi yonna, era walimbalimba amawanga gonna n’eby’obulogo bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
newakubadde okutangaala kwe ttaala, tekulitangaala nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly'awasa omugole n'ery'omugole teririwulirwa nate mu ggwe; kubanga abatunzi bo baali balangira ba nsi; kubanga mu bulogo bwo amawanga gonna gaalimbibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitangaala ky'ettaala tekiriddayo kulabika mu ggwe, wadde eddoboozi ly'awasa omugole n'ery'omugole okuddayo okuwulirwa mu ggwe. Abasuubuzi bo baali bakulu nnyo mu nsi, era obulogo bwo bwalimbalimba amawanga gonna!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
newakubadde okutangaala kw'ettabaaza tekulitangaala nate mu ggwe; newakubadde eddoboozi ly'awasa omugole n'ery'omugole teririwulirwa nate mu ggwe; kubanga abatunzi be baali balangira ba nsi; kubanga mu bulogo bwo amawanga gonna gaalimbibwa.