Revelation 18:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga amawanga gonna gaanywa omwenge gw'obusungu bw'obwenzi bwe; ne bakabaka b'ensi baayenda naye, n'abasuubuzi b'omu nsi baagaggawalira ku kwejalabya kwe okungi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga amawanga gonna gaanywa ku mwenge gw’obwenzi bwe. Bakabaka ab’omu nsi bonna baayenda naye. Era abasuubuzi ab’omu nsi yonna bagaggawadde olw’obulamu bwe obw’okwejalabya.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga olw'omwenge gw'obusungu bw'obwenzi bwe amawanga gonna gagudde; ne bakabaka b'ensi ne bayenda naye, n'abatunzi b'ensi ne bagaggawala olw'amaanyi g'obukaba bwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amawanga gonna gaatamiira omwenge ogw'obwenzi bwakyo. Bakabaka b'oku nsi baayenda nakyo, n'abasuubuzi b'oku nsi baagaggawalira ku kwejalabya kwakyo okuyitiridde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga olw'omwenge gw'obusungu bw'obwenzi bwe amawanga gonna gagudde; ne bakabaka b'ensi ne bayenda naye, n'abatunzi b'ensi ne bagaggawala olw'amaanyi g'obukaba bwe.