Revelation 18:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu nga ligamba nti: “Bantu bange, mumuveemu, muleme kwetaba mu bibi bye n'okugabana bwe mutyo ku bibonoobono bye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mpulira eddoboozi eddala nga lyogera okuva mu ggulu nga ligamba nti, “ ‘Mmwe abantu bange muve mu kibuga ekyo’ muleme kwegatta mu bibi bye, muleme kubonerezebwa wamu naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu, nga lyogera nti, “Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n'ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu nga ligamba nti: “Abantu bange, mukiveemu, muleme okwetaba mu bibi byakyo n'okugabana ku bibonyoobonyo byakyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu, nga lyogera nti Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n'ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye: