Revelation 18:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mumukole nga bwe yabakola; mmwe musinzeewo n'emirundi ebiri ku ebyo bye yakola; mu kikompe mwe yatabulira mmwe mumutabuliremu emirundi ebiri okusinga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mumuyise nga naye bwe yayisa abalala; mumubonereze emirundi ebiri olw’ebikolwa bye ebibi. Mumuyengere emirundi ebiri mu kikompe kye yagabulirangamu abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mumusasule oyo nga naye bwe yasasula, era mumwongereko emirundi ebiri ng'ebikolwa bye bwe byali: mu kikompe kye yatabula mumutabulire emirundi ebiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukikole bye kyabakola. Ku bikolwa byakyo, mmwe musinzeewo emirundi ebiri. Ekikopo kye kyabatabulira mmwe mukikitabulire emirundi ebiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mumusasule oyo nga naye bwe yasasula, era mumwongereko emirundi ebiri ng'ebikolwa bye bwe byali: mu kikompe kye yatabula mumutabulire emirundi ebiri.