Revelation 18:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gye yakoma okwegulumiza n'okwejalabya, nammwe gye muba mukoma okumubonyaabonya n'okumukaabya. Ye alowooza mu mutima gwe nti: ‘Ndi wano nze nnaabakyala, siri nnamwandu, n'okukungubaga sirikumanyaako.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bwe yeegulumiza ne yeejalabya, bw’otyo bw’oba omubonereza era omunakuwaze, kubanga ayogera mu mutima gwe nti, ‘Ntudde nga kabaka omukazi, siri nnamwandu, era sirina nnaku.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga bwe yeegulumiza n'akabawala, mumuwe bwe mutyo okubonaabona n'okunakuwala; kubanga ayogera mu mutima gwe nti, ‘Ntudde nga kabaka, so ssiri nnamwandu, so ssiriraba nnaku n'akatono.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gye kyakomya okwegulumiza n'okwejalabya, gye muba mukomya okukibonyaabonya n'okukikaabya, kubanga kyewaana nti: ‘Ntudde nga kabaka, siri nnamwandu era siribonaabona n'akatono.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga bwe yeegulumiza n'akabawala, mumuwe bwe mutyo okubonaabona n'okunakuwala; kubanga ayogera mu mutima gwe nti Ntudde nga kabaka, so ssiri nnamwandu, so ssiriraba nnaku n'akatono.