Revelation 18:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno ebibonoobono birimujjira ku lunaku lumu: kawumpuli, ebiwoobe n'enjala, era alyokebwa omuliro, kubanga Katonda amulamula wa maanyi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo ebibonyoobonyo eby’okufa n’okukaaba n’enjala birimujjira mu lunaku lumu, era alizikirizibwa n’omuliro; kubanga Mukama Katonda amusalidde omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyebiriva bijja mu lunaku olumu ebibonyoobonyo bye, okufa, n'ennaku, n'enjala; era alyokerwa ddala omuliro; kubanga Mukama Katonda ow'amaanyi amusalidde omusango.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibonyoobonyo byakyo: okufa, n'okunakuwala, n'enjala, kyebiriva bikijjira olunaku lumu era ne kyokebwa omuliro, kubanga Mukama Katonda akisalira omusango okukisinga, wa maanyi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyebiriva bijja mu lunaku olumu ebibonyoobonyo bye, okufa, n'ennaku, n'enjala; era alyokerwa ddala omuliro; kubanga Mukama Katonda wa maanyi eyamusalira omusango.