Revelation 19:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma, ne mpulira mu ggulu ekiri ng'eddoboozi ery'amaanyi ery'ebbiina eddene, nga ligamba nti: “Alleluuya! obulokofu, ekitiibwa n'obuyinza bya Katonda waffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo ne mpulira oluyoogaano lw’abantu abangi mu ggulu nga bagamba nti, “Aleruuya! Obulokozi n’ekitiibwa n’amaanyi bya Katonda waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lw'ebyo ne mpulira ng'eddoboozi eddene ery'ekibiina ekinene mu ggulu, nga boogera nti, “Aleruuya; Obulokozi, n'ekitiibwa, n'obuyinza bye bya Katonda waffe:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, ne mpulira mu ggulu eddoboozi eriri ng'ery'ekibiina ky'abantu ekinene, nga ligamba nti: “Mutendereze Katonda waffe, kubanga obulokozi, n'ekitiibwa n'obuyinza, bibye!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma lw'ebyo ne mpulira ng'eddoboozi eddene ery'ekibiina ekinene mu ggulu, nga boogera nti Aleruuya; Obulokovu, n'ekitiibwa, n'obuyinza bye bya Katonda waffe: