Revelation 19:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ngwa ku bigere bye okumusinza. N'aŋŋamba nti: “Togeza. Nange ndi muweereza munno, era munne wa baganda bo alina okujulira kwa Yezu. Katonda gw'oba osinza.” Kubanga okujulira kwa Yezu gwe mwoyo gw'obulanzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndyoka ngwa wansi ku bigere bye okumusinza naye ye n’aŋŋamba nti, “Tokikola! Kubanga nange ndi muddu wa Katonda nga ggwe era ng’abooluganda abalala abanywerera ku ebyo Yesu bye yatumanyisa! Ssinza Katonda. Okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gw’obunnabbi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne nvuunama mu maaso g'ebigere bye okumusinza. N'aŋŋamba nti, “ Laba tokola bw'otyo: ndi muddu munno era ow'omu baganda bo abalina okutegeeza kwa Yesu: sinza Katonda.” Kubanga okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gw'obunnabbi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne nfukamira kumpi ddala n'ebigere bye okumusinza. Kyokka n'aŋŋamba nti: “Leka! Ekyo tokikola! Ndi muweereza munno, era mpeerereza wamu ne baganda bo abanywerera ku mazima Yesu ge yatumanyisa. Sinza Katonda.” Kubanga amazima Yesu ge yatumanyisa, ge gawa abalanzi bye boogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne nvuunama mu maaso g'ebigere bye okumusinza. N’aŋŋamba nti Laba tokola bw'otyo: Ndi muddu munno era ow'omu baganda bo abalina okutegeeza kwa Yesu: sinza Katonda: kubanga okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gw'obunnabbi.