Revelation 19:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ndaba eggulu nga libikkuse; laba, embalaasi enjeru! Eyali agyebagadde nga bamuyita Mwesigwa, wa Mazima, alamula era alwanira mu butuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndaba eggulu nga libikkuse era laba embalaasi enjeru ng’agyebagadde ayitibwa Omwesigwa era Ow’amazima, asala omusango mu butuukirivu era mulwanyi wa kitalo mu ntalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba eggulu nga libikkuse; era, laba, embalaasi enjeru, n'eyali agituddeko, ayitibwa Mwesigwa era Ow'amazima; ne mu butuukirivu asala emisango era alwana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ndaba eggulu nga libikkuse, era ne ndaba embalaasi enjeru. Agyebagadde ayitibwa Mwesigwa era ow'amazima. Asala emisango era alwana entalo mu bwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba eggulu nga libikkuse; era, laba, embalaasi enjeru n'eyali agituddeko, ayitibwa mwesigwa era ow'amazima; ne mu butuukirivu asala emisango era alwana.