Revelation 19:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaaso ge nga gali ng'olulimi lw'omuliro; ku mutwe gwe ng'alina emige nkumu; ng'alina erinnya erimuwandiikiddwako eritaliiko mulala alimanyi wabula ye yekka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaaso ge gaali ng’olulimi lw’omuliro ogwaka, era nga yeetikkidde engule nnyingi ku mutwe gwe, ng’alina erinnya eriwandiikiddwa, kyokka ye yekka nga y’alimanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era amaaso ge gwe muliro ogwaka, ne ku mutwe gwe engule nnyingi; era ng'alina erinnya eriwandiikiddwa, omuntu yenna ly'atamanyi wabula ye yekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaaso ge gali ng'ennimi z'omuliro, era atikkidde engule nnyingi ku mutwe gwe. Awandiikiddwako erinnya eritamanyiddwa muntu n'omu, okuggyako ye yekka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era amaaso ge gwe muliro ogwaka, ne ku mutwe gwe engule nnyingi; era ng'alina erinnya eriwandiikidwa, omuntu yenna ly'atamanyi wabula ye yekka.