Revelation 19:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku munagiro gwe ne ku kisambi kye yalinako erinnya eriwandiikiddwa nti 'Kabaka wa bakabaka, Omukama w'abakama'.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku kyambalo kye ne ku kisambi kye kwali kuwandiikiddwako nti: “Kabaka wa Bakabaka era Mukama wa bakama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriwandiikiddwa nti, “KABAKA WA BAKABAKA, ERA MUKAMA W'ABAAMI.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku kyambalo kye ne ku kisambi kye, alina erinnya eriwandiikiddwako nti: KABAKA WA BAKABAKA, ERA MUKAMA W'ABAKAMA.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era alina ku kyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriwandiikiddwa nti KABAKA WA BAKABAKA, ERA MUKAMA W’ABAAMI.