Revelation 19:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ndaba malayika omu ng'ayimiridde mu njuba, alaamiriza n'eddoboozi eddene ennyonyi zonna ezaali zibuuka mu bbanga nti: “Mujje, mukuŋŋaane ku kyeggulo kya Katonda,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne ndaba malayika omu ng’ayimiridde mu njuba ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba ebinyonyi nti, “Mujje mukuŋŋaane ku kijjulo kya Katonda omukulu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba malayika ng'ayimiridde mu njuba; n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, ng'agamba ennyonyi zonna ezibuuka mu bbanga nti, “ Mujje mukuŋŋaane ku mbaga enkulu eya Katonda;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ndaba malayika ng'ayimiridde ku njuba. N'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka ng'agamba ebinyonyi byonna ebibuuka mu bbanga nti: “Mujje, mukuŋŋaane ku mbaga ennene Katonda gy'akoze,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba malayika ng'ayimiride mu njuba; n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, ng'agamba ennyonyi zonna ezibuuka mu bbanga nti Mujje mukuŋŋaane ku mbaga enkulu eya Katonda;