Revelation 19:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mulye ennyama ya bakabaka, n'ennyama y'abagabe, n'ennyama ya bakirimaanyi, n'ennyama y'embalaasi n'abeebagazi baazo, n'ennyama ya bonna: ey'abaana ab'eddembe n'ey'abaddu, ey'abatene n'abanene.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mulye ennyama y’emirambo gya bakabaka, abakulu b’amaggye n’abasajja ab’amaanyi, n’egy’embalaasi n’egy’abo abazeebagala, era n’egy’abantu bonna abaddu n’ab’eddembe, abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mulyoke mulye ennyama ya bakabaka, n'ennyama ey'abagabe, n'ennyama ey'ab'amaanyi, n'ennyama ey'embalaasi n'ey'abo abazituulako, n'ennyama eya bonna ab'eddembe era n'abaddu, n'abato n'abakulu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mulye emirambo gya bakabaka, n'egy'abakulu b'amagye, n'egy'abaserikale, n'egy'embalaasi, n'egy'abazeebagala, n'egy'abantu bonna abaddu n'ab'eddembe, abakulu n'abato!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mulyoke mulye ennyama ya bakabaka, n'ennyama ey'abagabe, n'ennyama ey'ab’amaanyi, n'ennyama ey'embalaasi n’ey'abo abazituulako, n'ennyama eya bonna ab'eddembe era n'abaddu, abato n'abakulu.