Revelation 19:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kuba ennamula ye y'amazima era ntuukirivu; y'alamudde omwenzi ono kkungwa, eyayonoona ensi yonna n'obwenzi bwe; amwesasulizzaako olw'omusaayi gw'abaweereza be be yatta.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ensala ye ey’emisango ya mazima era ya butuukirivu. Yabonereza malaaya omukulu eyayonoona ensi n’obwenzi bwe. Era yawoolera eggwanga ku mwenzi oyo olw’omusaayi gw’abaweereza be.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga ensala ye ey'emisango ya bwenkanya era ya mazima; kubanga asalidde omusango omwenzi omukulu, eyayonoona ensi n'obwenzi bwe, era awooledde eggwanga ku ye, lw'omusaayi gw'abaddu be”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ky'asalawo kituufu era kya bwenkanya. Asaze omusango, ne gusinga malaaya lukulwe, eyayonoona ensi n'obwamalaaya bwe. Malaaya oyo abonerezeddwa olw'okutta abaweereza ba Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga emisango gye gya mazima era gya nsonga; kubanga asalidde omusango omwenzi omukulu, eyayonoona ensi n'obwenzi bwe, era awooledde eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu be mu mukono gw'oyo.