Revelation 19:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisolo ne kiwambibwa, era wamu nakyo omulanzi ow'obulimba eyakola obubonero mu maaso gaakyo bwe yalimbisa abantu abaali bafunye akabonero k'ekisolo n'abaasinza ekifaananyi kyakyo. Abo bombi ne bakasukibwa nga balamu mu nnyanja ey'omuliro ogw'ebibiriiti ebyaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekisolo ne kiwambibwa awamu ne nnabbi ow’obulimba eyakolanga ebyamagero ng’ekisolo kiraba; bye yakola ng’alimbalimba abo abakkiriza akabonero k’ekisolo era abasinza ekifaananyi kyakyo. Awo ekisolo ne nnabbi ow’obulimba ne basuulibwa nga balamu, mu nnyanja ey’omuliro eyaka ne salufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensolo n'ekwatibwa era wamu nayo nnabbi ow'obulimba eyakola obubonero mu maaso gaayo bwe yalimbisa abo abakkiriza akabonero k'ensolo, n'abo abasinza ekifaananyi kyayo: bombi ne basuulibwa nga balamu mu nnyanja ey'omuliro eyaka n'ekibiriiti:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekisolo ne kiwambibwa awamu n'omulanzi ow'obulimba, eyakola ebyewuunyo mu maaso gaakyo. Ebyewuunyo ebyo bye yalimbisanga abakkiriza okuteekebwako akabonero k'ekisolo, era abaasinza ekifaananyi kyakyo. Ekisolo ekyo n'omulanzi ow'obulimba, bombi ne basuulibwa mu nnyanja ey'omuliro ogwaka ennyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensolo n’ekwatibwa era wamu nayo nnabbi ow'obulimba eyakola obubonero mu maaso gaayo bwe yalimbisa abo abakkiriza enkovu y'ensolo, n'abo abasinza ekifaananyi kyayo: bombi ne basuulibwa nga balamu mu nnyanja ey'omuliro eyaka n'ekibiriiti: