Revelation 19:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasigaddewo ne battibwa n'ekitala ky'oyo atudde ku mbalaasi ekyali kiva mu kamwa ke; ennyonyi zonna ne zekkutira ennyama yaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaasigalawo ne battibwa n’obwogi bw’ekitala ekyava mu kamwa k’oyo eyeebagadde embalaasi. Ennyonyi zonna ez’omu bbanga ne zirya ne zekkutira emirambo gyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'abaasigalawo ne battibwa n'ekitala ky'oyo eyali atudde ku mbalaasi, ekiva mu kamwa ke: n'ennyonyi zonna ne zikkutira ku nnyama yaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaasigalawo ne battibwa n'ekitala ekyava mu kamwa k'oyo eyeebagadde embalaasi. Ebinyonyi byonna ne byekkutira emirambo gyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abaasigalawo ne battibwa n'ekitala ky'oyo eyali atudde ku mbalaasi, ekiva mu kamwa ke: n'ennyonyi zonna ne zikkuta ku nnyama yaabwe.