Revelation 19:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate eddoboozi ne liva ku nnamulondo nga ligamba nti: “Mugulumize Katonda, mwenna abaweereza be; mwenna abamutya, abatene n'abanene.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo eddoboozi ne liva mu ntebe ey’obwakabaka nga ligamba nti: “Mumutendereze Katonda waffe, mmwe abaddu be mwenna abamutya abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'eddoboozi ne liva mu ntebe, nga lyogera nti, “Mutendereze Katonda waffe, mmwe mwenna abaddu be, abamutya, abato n'abakulu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era eddoboozi ne liva awali entebe ey'obwakabaka ne ligamba nti: “Mutendereze Katonda waffe mmwe mwenna abaweereza be, nammwe mwenna abato n'abakulu abamussaamu ekitiibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'eddoboozi ne liva mu ntebe, nga lyogera nti Mutendereze Katonda waffe, mmwe mwenna abaddu be, abamutya, abato n'abakulu.