Revelation 19:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mpulira ekiri ng'eddoboozi ly'ebbiina eddene, ng'okuwuuma okw'amazzi amangi, ng'okubwatuka kwa laddu ez'amaanyi, nga ligamba nti: “Alleluuya! Omukama Katonda, Omuyinza wa buli kantu afuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate ne mpulira oluyoogaano lw’abantu abangi olwawulikika ng’amayengo ag’ennyanja ennene, oba ng’eddoboozi ery’okubwatuka, ne boogera nti, “Aleruuya, kubanga Mukama Katonda waffe Ayinzabyonna y’afuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mpulira ng'eddoboozi ly'ekibiina ekinene, era ng'eddoboozi ly'amazzi amangi, era ng'eddoboozi ly'okubwatuka okw'amaanyi, nga byogera nti, “Aleruuya: kubanga Mukama Katonda waffe Omuyinza w'ebintu byonna afuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate ne mpulira eddoboozi eriri ng'ery'ekibiina ky'abantu ekinene, eriri ng'okuwuuma kw'amazzi amangi, era ng'okubwatuka kw'eggulu okw'amaanyi, nga ligamba nti: “Mutendereze Katonda, kubanga Mukama Katonda waffe Omuyinzawaabyonna, ye afuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mpulira ng'eddoboozi ly'ekibiina ekinene, era ng'eddoboozi ly'amazzi amangi, era ng'eddoboozi ly'okubwatuka okw'amaanyi, nga byogera nti Aleruuya: kubanga Mukama Katonda waffe Omuyinza w'ebintu byonna afuga.