Revelation 19:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tusanyuke, tujaguze, tumuwe ekitiibwa, kubanga embaga y'Akaliga etuuse, ne mugole we yeetegese dda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ka tusanyuke, tujaguze, era tumugulumize, kubanga ekiseera kituuse eky’embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga, era n’omugole we yeeteeseteese.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tusanyuke, tujaguze, tumuwe ekitiibwa ye: kubanga obugole bw'Omwana gw'endiga butuuse, ne mukazi we yeeteeseteese.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tusanyuke, tujaguze tutendereze ekitiibwa kye, kubanga ekiseera eky'embaga y'obugole ey'Omwana gw'Endiga kituuse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tusanyuke, tujaguze, tumuwe ekitiibwa ye: kubanga obugole bw'Omwana gw'endiga butuuse, ne mukazi we yeeteeseteese.