Revelation 19:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ateekwa okwambala engoye empeweevu, ezitangalijja, ezitukula;” - anti engoye ezo bye bikolwa ebirungi eby'abatuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omugole n’ayambazibwa olugoye olwa linena omulungi ennyo, olunekaaneka era olusingayo okutukula.” (Linena omulungi ennyo by’ebikolwa eby’obutuukirivu eby’abatukuvu.)
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aweebwa okwambala bafuta entukuvu ennungi,” kubanga bafuta eno bye bikolwa eby'obutuukirivu eby'abatukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akkiriziddwa okwambala engoye eŋŋonvu, ezitukula era ezitemagana.” Engoye ezo eŋŋonvu, bye bikolwa ebirungi eby'abantu ba Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aweebwa okwambala bafuta entukuvu ennungi: kubanga bafuta eno bye bikolwa eby'obutuukirivu eby'abatukuvu.