Revelation 19:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aŋŋamba nti: “Wandiika kino: Beesiimye abayitiddwa ku mbaga y'Akaliga.” Ate n'aŋŋamba nti: “Bino bigambo bya Katonda, bya mazima.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika n’aŋŋamba nti, “Wandiika nti balina omukisa abo abayitiddwa ku kijjulo ky’embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga.” N’ayongerako na kino nti, “Katonda yennyini ye yakyogera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aŋŋamba nti Wandiika nti, “ Baweereddwa omukisa abo abayitibwa ku mbaga ey'obugole bw'Omwana gw'endiga.” N'aŋŋamba nti, “ Ebyo bye bigambo eby'amazima ebya Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika n'aŋŋamba nti: “Wandiika nti: ‘Ba mukisa abayitiddwa ku mbaga ey'obugole ey'Omwana gw'Endiga.’ ” Era n'aŋŋamba nti: “Ebyo bigambo byennyini Katonda bye yayogera.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aŋŋamba nti Wandiika nti Baweereddwa omukisa abayitibwa ku mbaga ey'obugole bw'Omwana gw'endiga. N'aŋŋamba nti Ebyo bye bigambo eby'amazima ebya Katonda.