Revelation 2:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Malayika w'Ekleziya mu Efezi muwandiikire nti: ‘Bw'ati bw'agamba oyo akutte emmunyeenye omusanvu mu mukono gwe ogwa ddyo, atambulira wakati w'ebikondo omusanvu eby'ettawaaza ebya zaabu, nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Efeso wandiika nti: Bw’ati bw’ayogera oyo akwata emmunyeenye omusanvu mu ngalo ze mu mukono gwe ogwa ddyo, oyo atambulira wakati w’ebikondo by’ettaala omusanvu ebya zaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Efeso wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera oyo akwata emmunyeenye omusanvu mu mukono gwe ogwa ddyo, atambulira wakati w'ebikondo by'ettaala omusanvu eza zaabu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Malayika w'ekibiina ky'abakkiriza eky'omu Efeso, muwandiikire nti: “Oyo akwata emmunyeenye omusanvu mu mukono gwe ogwa ddyo, era atambulira wakati w'ebikondo by'ettaala omusanvu ebya zaabu, bino by'agamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Efeso wandiika nti Bw'ati bw'ayogera oyo akwata emmunyeeye omusanvu mu mukono gwe ogwa ddyo, atambulira wakati w'ettabaaza omusanvu eza zaabu, nti