Revelation 2:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibonoobono ebigenda okukugwira tobitya. Abamu mu mmwe Sitaani wuuyo ajja okubasuula mu kkomera, mugezebwe; mujja kubonaabona okumala ennaku kkumi. Ba mwesigwa okutuusa okufa, olwo ndikuwa engule ey'obulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temutya n’akatono ebyo bye mugenda okubonaabona. Laba Setaani anaatera okusiba abamu ku mmwe mu makomera okubagezesa. Muliyigganyizibwa okumala ennaku kumi ddamba. Mubeere beesigwa okutuusa okufa, nange ndibawa engule ey’obulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Totya by'ogenda okubonaabona, laba, Setaani anaatera okusuula abamu mu mmwe mu kkomera okubagezesa, era mulibonaabonera ennaku kkumi (10). Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey'obulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Totya ebyo by'ogenda okubonaabonamu. Laba, Sitaani anaatera okuteeka abamu ku mmwe mu kkomera mugezebwe, era mulibonaabonera ennaku kkumi. Beeranga mwesigwa ne bwe kiba kikutuusa ku kufa, nze ndikuwa engule ey'obuwanguzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Totya by'ogenda okubonaabona: laba, omulyolyomi oyo agenda okusuula abamu mu mmwe mu kkomera, mukemebwe; era mulibonaabonera ennaku kkumi. Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey'obulamu.