Revelation 2:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alina okutu, awulire Mwoyo by'agamba Ekleziya. Aliba awangudde, okufa okwokubiri tekulimukolako kabi.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula talifa mulundi gwakubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula talirumwa n'akatono kufa kwa kubiri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Alina amatu, awulire ekyo Mwoyo ky'agamba ebibiina by'abakkiriza Kristo. Awangula amaanyi ga Sitaani, okufa okwokubiri tekulimukolako kabi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula talirumwa n'akatono kufa kwa kubiri.