Revelation 2:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmanyi nga gy'osula nnamulondo ya Sitaani gy'eri; teweegaana kukkiriza kwo ne luli mu nnaku z'omujulirwa wange Antipa, musajja wange omwesigwa, eyattirwa eyo ewammwe, eyo Sitaani gy'asula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nti, Mmanyi gy’obeera awo awali entebe y’obwakabaka bwa Setaani, kyokka ng’onywezezza erinnya lyange era wasigala n’okukkiriza kwo, ne mu biseera Antipa omujulirwa wange omwesigwa mwe yattirwa wakati mu mmwe, eyo Setaani gy’abeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti Mmanyi gy'otuula awali entebe ey'obwakabaka eya Setaani, kyokka ng'onywezeza erinnya lyange, era nga teweegaana kukkiriza kwange, ne mu biseera bya Antipa, omujulirwa wange omusajja wange omwesigwa, eyattirwa ewammwe, eyo Setaani gy'abeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmanyi gy'obeera, awali entebe ey'obwakabaka eya Sitaani. Kyokka onnywereddeko. Ne mu kiseera Antipa, omujulirwa wange omwesigwa mwe yattirwa ewammwe, Sitaani gy'abeera, wasigala okyanzikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmanyi gy'otuula awali entebe ey'obwakabaka eya Setaani: era okwata erinnya lyange, so teweegaana kukkiriza kwange era ne mu nnaku za Antipa, omujulirwa wange omusajja wange omwesigwa, eyattirwa ewammwe, Setaani w'atuula.