Revelation 2:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso nninayo obutonotono bwe nkuvunaana: Olinayo eyo abakwata enjigiriza ya Balaamu eyayigiriza Balaki okusuula Abayisirayeli mu kyesittazo balye ebiwonge bakole n'obwenzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nkulinako ensonga ntono: eyo olinayo ab’enjigiriza eya Balamu eyayigiriza Balaki okutega abaana ba Isirayiri omutego n’abaliisa ennyama ey’omuzizo eyassaddaakirwa eri bakatonda abalala, era n’okwenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nnina ensonga ntono ku ggwe, eyo olinayo abantu abagoberera okuyigiriza kwa Balamu, eyayigiriza Balaki okuteeka enkonge mu maaso g'abaana ba Isiraeri, n'abaliisa ebyaweebwa eri ebifaananyi n'okwenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye nnina ebitonotono bye nkuvunaana, kubanga eyo olinayo abagoberera okuyigiriza kwa Balamu, eyayigiriza Balaki okwesittaza Abayisirayeli, balye ebiweereddwayo eri ebyo ebitali Katonda, era bakole eby'obwenzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nnina ensonga ku ggwe si nnyingi, kubanga olina eyo abakwata okuyigiriza kwa Balamu, eyayigiriza Balaki okuteeka enkonge mu maaso g'abaana ba Isiraeri, okulya ebyaweebwa eri ebifaananyi n'okwenda.