Revelation 2:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alina okutu, awulire Mwoyo by'agamba Ekleziya. Aliba awangudde, ndimuwa manu enkusike, ndimuwa n'akayinja akeeru akawandiikiddwako erinnya eriggya eritalina mulala alimanyi wabula oyo yekka akafunye.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa. Era ndimuwa ejjinja eryeru eriwandiikiddwako erinnya eriggya eritamanyiddwa muntu mulala yenna wabula oyo aliweereddwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa, era ndimuwa ejjinja eryeru eriwandiikiddwako erinnya eriggya, eritamanyiddwa muntu mulala yenna wabula oyo aliweebwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Alina amatu, awulire Mwoyo ky'agamba ebibiina by'abakkiriza Kristo. Awangula amaanyi ga Sitaani, ndimuwa ku mannu eyakwekebwa, era ndimuwa ejjinja eryeru, eriwandiikiddwako erinnya eriggya, eritamanyiddwa muntu mulala, wabula oyo alifuna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula ndimuwa ku maanu eyakwekebwa, era ndimuwa ejjinja ejjeru, era ku jjinja kuwandiikiddwako erinnya eriggya: omuntu yenna ly'atamanyi wabula aweebwa.