Revelation 2:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ne malayika w'Ekleziya mu Tiyatira muwandiikire nti: ‘Bw'ati bw'agamba Omwana wa Katonda, alina amaaso agali ng'olulimi lw'omuliro n'ebigere bye ebiri ng'ekyuma eky'ekikomo ekizigule, nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Suwatira wandiika nti: Bw’ati bw’ayogera Omwana wa Katonda, oyo alina amaaso agali ng’ennimi ez’omuliro, n’ebigere ebimasamasa ng’ekikomo ekizigule
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Suwatira wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera Omwana wa Katonda, alina amaaso agali ng'ennimi z'omuliro, n'ebigere bye ebifaanana ng'ekikomo ekizigule,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Malayika w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Tiyatira muwandiikire nti: Omwana wa Katonda, alina amaaso agali ng'ennimi z'omuliro, ebigere bye nga biri ng'ekikomo ekizigule, bino by'agamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Suwatira wandiika nti Bw'ati bw'ayogera Omwana wa Katonda, alina amaaso agali ng'ennimi z'omuliro, n'ebigere bye ebifaanana ng'ekikomo ekizigule, nti