Revelation 2:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmanyi by'okola, okwagala kwo, okukkiriza kwo n'obugumiikiriza bwo; ate by'okola ennaku zino bisingako obulungi ku byasooka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nti, Mmanyi ebikolwa byo, n’okwagala kwo, n’okukkiriza kwo, n’obutuukirivu bwo, n’okugumiikiriza kwo, era n’ebikolwa byo eby’oluvannyuma bisinga ebyasooka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti Mmanyi ebikolwa byo n'okwagala n'okukkiriza n'okuweereza n'okugumiikiriza kwo, n'ebikolwa byo eby'oluvannyuma nga bingi okusinga eby'olubereberye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmanyi by'okola. Mmanyi okwagala kwo, n'okugumiikiriza kwo, era mmanyi nga by'okola kaakano bingi okusinga bye wakolanga olubereberye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmanyi ebikolwa byo n'okwagala n'okukkiriza n'okuweereza n'okugumiikiriza kwo, n'ebikolwa byo eby'oluvannyuma nga bingi okusinga eby'olubereberye.