Revelation 2:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka nnina kino kye nkuvunaana: waleka omukazi Yezebeli, eyeeyita omulanzi, n'ayigiriza era n'awubisa abaweereza bange, ne bakola obwenzi n'okulya ebiwongeddwa balubaale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka nkulinako ensonga eno. Ogumiikiriza omukazi Yezeberi eyeeyita nnabbi omukazi akyamya abaweereza bange ng’abayigiriza obwenzi n’okulya emmere eweereddwayo eri bakatonda abalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga oleka omukazi Yezeberi, eyeeyita nnabbi, akyamya abaweereza bange mu bwenzi n'okulyanga ebiweebwa eri ebifaananyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nnina kye nkuvunaana: omukazi Yezebeeli eyeeyita omulanzi, wamuleka okukyamya abagoberezi bange, ng'abayigiriza okwenda n'okulya ebiweereddwayo eri ebyo ebitali Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nnina ensonga ku ggwe, kubanga oleka omukazi oli Yezeberi, eyeeyita nnabbi; n'ayigiriza n'akyamya abaddu bange okwendanga, n'okulyanga ebyaweebwa eri ebifaananyi.