Revelation 2:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno nzija kumuteeka ku ndiri; abo abaayenda naye nzija kubalabya ennaku ez'ekitalo, mpozzi nga beenenyezza ebikolwa bye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, ndimulwaza obulwadde obulimusuula ku ndiri, era n’abo baayenda nabo mbatuuse ku bulumi obw’amaanyi, okuggyako nga beenenyezza ebikolwa byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba ndi muteeka ku ndiri ne mulwaza, era mubonyebonye wamu ne be yayendanga n'abo, okuggyako nga beenenyezza ebikolwa byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale njija kumuteeka ku ndiri abeere mu kubonaabona okungi wamu n'abo abaayenda naye, bwe bateenenye ebyo bye baakola naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba mmusuula ku kiriri, n'abo abenda naye mu kubonaabona okungi, bwe bateenenya mu bikolwa bye.