Revelation 2:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abaana be nzija kubatta n'olumbe; Ekleziya zonna olwo zinaategeera nga nze wuuyo eyeekenneenya emmeeme n'omutima, nga buli omu nzija kumuwa nga ngerera ku by'akoze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era nditta abaana be. Olwo Ekkanisa zonna ziryoke zitegeere nti nkebera emitima n’ebirowoozo era ndibasasula ng’ebikolwa byabwe bwe biri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'abaana be ndibatta n'olumbe, olwo ekkanisa zonna ziryoke zitegeere nga nze nzuuyo akebera emmeeme n'emitima, era nga ndisasula buli muntu ng'ebikolwa bye bwe biri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era abagoberezi be ndibatta, ebibiina byonna eby'abakkiriza Kristo biryoke bitegeere nga nze wuuyo akebera ebirowoozo n'emitima. Buli omu ku mmwe ndimuwa ekimusaanidde, nga nsinziira ku bikolwa bye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'abaana be ndibatta n'olumbe; ekkanisa zonna ne zitegeera nga nze nzuuyo akebera emmeeme n'emitima: era ndiwa buli muntu mu mmwe ng'ebikolwa byammwe bwe biri.