Revelation 2:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mmwe abalala mwenna abali mu Tiyatira, abatagoberera njigiriza, abataamanya bye bagamba nti bikisiddwa nnyo bya Sitaani, sijja kubongerako mugugu mulala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale mmwe abalala abali mu Suwatira abatagoberera kuyigiriza kuno abatamanyi bintu bya Setaani eby’obuziba ng’enjogera bw’egamba, sigenda kubassaako mugugu mulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mmwe mbagamba, abasigalawo ab'omu Suwatira, bonna abatalina kuyigiriza kuno, abatamanyi bya buziba bya Setaani, nga bwe boogera, sibateekako mmwe mugugu mulala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye mmwe abalala ab'omu Tiyatira, abatakkiriza kuyigiriza okwo era abatamanyi ebyo abamu bye bayita ebyama ebyomunda ennyo ebya Sitaani, mbagamba nti: sijja kubatikka buzito bulala,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mmwe mbagamba, abasigalawo ab'omu Suwatira, bonna abatalina kuyigiriza kuno, abatamanyi bya buziba bya Setaani, nga bwe boogera; sibateekako mmwe mugugu mulala.