Revelation 2:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alibafuga ne ddamula ow'ekyuma, n'abaasaayasa ng'ayasa ebibya eby'ebbumba, nga nange bwe nafuna bwe ntyo obuyinza okuva ewa Kitange;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma, n’abayasaayasa ng’ayasaayasa ebibya eby’ebbumba.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era aligalunda n'omuggo ogw'ekyuma, n'agaasaayasa ng'ebibya ebibumbe bwe byatikayatika, nange nga bwe nnaweebwa Kitange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga nange bwe nabuweebwa Kitange. Aligafugisa omuggo ogw'ekyuma, aligaasaayasa nga ayasaayasa ebibya eby'ebbumba. Era ndimuwa emmunyeenye ey'oku makya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era alibalunda n'omuggo gw'ekyuma, ng'ebibya ebibumbe bwe byatikayatika; era nange nga bwe nnaweebwa Kitange;