Revelation 2:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno jjukira gye wava okugwa, weenenye; okole ebyo bye wakolanga olubereberye. Bw'oteenenye, nzija kujja gy'oli, nzigye ekikondo ekyo eky'ettawaaza mu kifo kyakyo, wabula mpozzi nga weenenyezza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo jjukira we waseeseetuka. Weenenye, onjagale nga bwe wanjagalanga edda. Naye bw’otookole bw’otyo ndijja gy’oli ne nzigyawo ekikondo ky’ettaala yo mu kifo kyakyo, okuggyako nga weenenya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale jjukira gye wagwa, weenenye, okole ebikolwa bye wakolanga olubereberye. Bw'otolikola bw'otyo, ndijja gy'oli, ne nziggyawo ekikondo ky'ettaala yo mu kifo kyayo, okuggyako nga weenenyeza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale jjukira gye wagwa, weenenye, okole bye wakolanga olubereberye. Bw'oteenenye, nja kujja gy'oli, nzigyewo ekikondo kyo eky'ettaala mu kifo kyakyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale jjukira gye wagwa, weenenye, okolenga ebikolwa eby'olubereberye; bw'otalikola bw'otyo, njija gy'oli, era ndiggyawo ettabaaza yo mu kifo kyayo, bw'otalyenenya.