Revelation 2:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Alina okutu, awulire Mwoyo by'agamba Ekleziya. Aliba awangudde, ndimuwa okulya ku muti ogw'obulamu oguli mu nnimiro ya Katonda ey'okwesiima.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alina amatu, awulire Omwoyo ky’agamba Ekkanisa ezo. Oyo awangula ndimuwa okulya ku muti ogw’obulamu oguli mu nnimiro ya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Oyo awangula ndimuwa okulya ku muti ogw'obulamu, oguli wakati mu lusuku lwa Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Alina amatu, awulire Mwoyo ky'agamba ebibiina by'abakkiriza Kristo. Awangula ebibi, ndimuwa obuyinza okulya ku bibala by'omuti ogw'obulamu, oguli mu kifo eky'okwesiima ekya Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa. Awangula ndimuwa okulya ku muti ogw'obulamu, oguli wakati mu lusuku lwa Katonda.