Revelation 2:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ne malayika w'Ekleziya mu Simiruna muwandiikire nti: ‘Bw'ati bw'agamba Omubereberye ate ow'Oluvannyuma, eyali afudde ate n'addamu obulamu, nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Sumuna wandiika nti: Bw’ati bw’ayogera Owoolubereberye era Owenkomerero eyali afudde oluvannyuma n’azuukira n’aba mulamu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Sumuna wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera ow'olubereberye era ow'enkomerero, eyali afudde ate n'aba omulamu
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Malayika w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Simiruna muwandiikire nti: “Ow'olubereberye era ow'enkomerero, eyali afudde n'aba omulamu, bino by'agamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Samuna wandiika nti Bw'ati bw'ayogera ow'olubereberye era ow'enkomerero, eyali afudde n'aba omulamu nti