Revelation 2:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmanyi ennaku zo n'obwavu bwo, sso oli mugagga; mmanyi abeeyita Abayudaaya sso nga si bwe bali, wabula sinaagooga ya Sitaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nti mmanyi okubonaabona kwo n’obwavu bwo, naye ng’oli mugagga, era n’okulimirira kw’abo abeeyita Abayudaaya songa ssi Bayudaaya, wabula kuŋŋaaniro lya Setaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti Mmanyi okubonaabona kwo n'obwavu bwo, naye ng'oli mugagga, n'okuvvoola kw'abo abeeyita Abayudaaya so nga si bo, naye kkuŋŋaaniro lya Setaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmanyi okubonaabona kwo, n'obwavu bwo, kyokka oli mugagga. Mmanyi n'okuvvoola kw'abo abeeyita Abayudaaya, sso nga si Bayudaaya, wabula bagoberezi ba Sitaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmanyi okubonaabona kwo n'obwavu bwo (naye oli mugagga), n'okuvvoola kw'abo abeeyita Abayudaaya so nga si bo, naye kkuŋŋaaniro lya Setaani.